Omubaka wa parliament akiikirira essaza Kabula Enos Asiimwe Kinywamacunda, asimattuse okuttibwa mu kiró ekikeesezza olwaleero nga 15 March,2026 ku Hotel ya Court Yard mu kibuga kye Lyantonde bwalumbiddwa omuzigu w’emmuddu.
Omubaka Enos Asiimwe yesimatudde ku muzigu w’emmuddu nabuuka okuva ku mwaliro ogwokusatu okukka wansi, era naamenyeka okugulu.
Muganda wo mubaka nga ye muwandiisi wa NRM mu district ye Lyantonde,Moses Kamama Kinywamacunda, agambye nti Omubaka Enos atandise okujjanjabirwa olw’obuvune bweyafunye.
Moses Kamama ategezezza cbs nti mu kiseera kino naye ali ku bujjanjabi, oluvanyuuma lw’okuweebwa obutwa.
Amyuka Omubaka wa Government e Lyantonde , Dorcus Natukunda, agambye nti ng’ab’ebyokwerinda batandise okunoonyereza ku byabaddewo.
Bisakiddwa: Kanwagi Baziwaane









