Obulwadde bw’olukusense busaasaanidde district ye Bugiri, era abaana abawerako lubakubye ku ndiri.
Akulira ebyobulamu mu Bugiri Dr. Robert Musenze agamba nti baliko sample zebaggya ku baana nebazitwala Entebbe, nekizuulibwa nga abawerako balina ekimbe kino.
Musenze agamba nti endwadde eno esinga kukosa baana abali wakati w’emyezi 6 n’emyaka 5.
Abaana abalina olukusense babeera n’obubonero okuli omuliro ogw’amaanyi mu mubiri, ssenyoiga, ekifuba eky’amaanyi, omusujja, obutuluttuttu obukubye omubiri gwonna n’ebirala.
Dr. Robert Musenze agumizza abatuuze nti Ministry y’ebyobulamu ebaweerezza eddagala mu bungi okulwanyisa endwadde eno kattira.
Bisakiddwa: Kirabira Fred