Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Past District Governor Owek. Robert Waggwa Nsibirwa atongozza olukiiko olunasunsula abaagala okukulembera ekittavvu kya Kyadondo CBS PEWOSA.
Bwabadde atongoza olukiiko luno mu Bulange e Mengo, Owek Nsibirwa yeebazizza abakulembeze ba PEWOSA olw’obunyiikivu, obuyiiya n’obwerufu bweboolesa mu nkola y’emirimu gyabwe.
Olukiiko lukulemberwa munnabyanjigiriza Prof. Muyunga Steven, abalala ye; Ssebaggala Henry ne Nabisere Hanifer.
Aba Kyaddondo CBS PEWOSA baakutuuza ne ttabamiruka wabwe ow’omulundi ogw’okuna nga 22 July,2023 ku Mengo Teachers’ Hall, gyebanaategeereza ba mmemba ebituukiddwako mu kibiina n’okugabana ku magoba gabwe.
Ku olwo era lwebanaagaba ebirabo eri bannamukisa abeetaba mu kazannyo ka ‘Kabbo ka muwala” mwebavuganyiza ku birabo nga boda boda, school fees n’ebirala.
Ekittavvuu kino kirina ebibiina 800 nga buli kimu kirimu ba mmemba 30.
Ssentebe wa Kyaddondo CBS PEWOSA era Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe agambye nti baagala okuweza ba mmemba 100,000 mu kittavvu kyabwe kino, ng’emu ku ngeri y’okwagazisa abantu ba Ssaabasajja okwettanira Obwegassi nga bwalagira.
Ssentebe w’olukiiko olw’ekenneenya abakulembeze alondeddwa, Prof Steven Muyunga yeebazizza nnyo Obwakabaka okutandikawo enteekateeka zino, eziruubirira okubbulula abantu ba Kabaka mu nvuba y’obwavu kyagambye nti kisitudde bangi.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K