Oludda oluvuganya government lwanjudde embalirira y’omwaka 2025/2026 ya Trillion 55 n’obuwumbi 790, gyebasuubira nti esobola okuyimirizaawo eggwanga ng’essira lissiddwa kubinayamba okussa ebyetaago bya bannansi ku mwanjo.
Embalirira eno esomeddwa akulira oludda oluvuganya government mu parliament era omubaka wa Nakawa West Joel Ssennyonyi, bagala etambulire ku mulamwa ogw’okulwanyisa obulyi bw’enguzi, n’okussaawo obuweereza obw’omuggundu.
Mu nteekateeka eno , bagala contract zonna government z’ekola n’ebitongole ebyenjawulo zissibwe ku mutimbagano kiyambeko bannauganda okulondoola ebikolwa eby’obulyi bw’enguzi ebikolebwa mu bitongole bya government.
Banokoddeyo contract y’ekitongole kya Umeme ey’emyaka 20 ekomekkerezeddwa olwa leero nga 31 March,2025, gye bagamba nti engeri gyeyakolebwamu yali efiiriza eggwanga.
Baggyeyo n’eky’eddwaliro erizimbibwa e Lubowa, wabula ng’ebirikwatako tebitegeerekeka, sso nga lisaasaanyiziddwako obuwanana bw’ensimbi, sso ng’ensimbi ezirina okusasulwa okukola project ezo ziva ku nsimbi ya muwi wa musolo.
Okusinziira ku mbalirira y’eggwanga ey’omwaka 2025/2026 government gyeyayanjudde Trillion 71.9.
Baagala wabeewo okukendeeza ku nsaasaanya y’ensimbi ng’ekendeeza bakulembeze n’ebitongole ebirabika nga eby’amalya nsimbi.
Ssenyonyi agamba nti omuwendo gwa ba RDC n’abamyuka baabwe nagwo gususse obunene, saako okusaba parliament okuyisa ensimbi z’ennyongereza ez’olutentezi, n’obuli bw’enguzi n’obulyake ebiyitiridde.
Okulinnyirira eddembe ly’obuntu, enfuga etagoberera mateeka, ebyokwerinda n’ebyobutebenkevu ebitamatiza n’ebirala.
Mu birala baagala wabeewo enteekateeka ennuηηamu egobererwa mu nnambika y’amateeka n’okuwa obwenkanya mu kkooti.
President wa NUP ekibiina ekisiinga ababaka abangi mu parliament Robert Kyagulanyi Ssentamu agambye nti okulwanyisa enguzi kulina kusookera mu parliament, nti kubanga erina amaanyi mangi agasalawo ku bintu ebiyamba omuntu wa bulijjo.