Okusabira Ssaabasajja Kabaka Nnyininsi Ronald Muwenda Mutebi II olw’okuweza emyaka 70 egy’ekitiibwa kuyindira mu lutikko e Lubaga.
Okusaba kukulembeddwamu Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala ng’ali wamu ne Ssaabasumba eyawummula Augustine Kasujja, Omusumba Lawrence Musaka owe Luweero, Omusumba Silverus Jjumba ow’e Masaka, n’abasassorodooti abalala bangi ddala.
Okusaba kutandise ku ssaawa mwenda ez’olweggulo, era lwe lunaku lw’okunyeenya Matabi olw’okwetegekera wiiki entukuvu ey’okukuza ey’amazuukiura ga Yezu Kristu ag’omwaka 2025.
Omulangira David Kintu Wasajja yaasomye essomo eryokubiri mu mmisa eno, livudde mu bbaluwa Paul Omutume gyeyawaandiikira abe Filippi 2: 6 -11

Ebigambo bya Ssaabasumba eby’okubuulira era eby’okwebuulirirako;
Abarooma: 14 : 5 – 16.
Oyo afuna olunaku lwasaamu ekitiibwa okusiinga endala zonna, abeera akoze bukungi, era abeera assa ekitiibwa mu Katonda.
N’olwekyo olunaku luno olw’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kisiikirize Kyakatonda, lubeera lunaku lwankizo nnyo eri Obuganda, kubanga ewatali Kabaka tewali Buganda.
Ssaabasumba asabidde Omutanda nti obukulembeze bwe bwongere okuluηηamyanga abantu bonna, era babwenyumirizengamu.

Ssaabasumba agambye nti Obukulembeze bwa Musota Sseggwanga bugannyudde abantu bangi ssi mu Buganda yokka, wabula Uganda yonna.
Awadde eky’okulabirako eky’enteekateeka z’eby’obulamu, eby’enjigiriza, emikutu gy’empuliziganya,okukubiriza abantu okulima emmwanyi n’eby’obulimi ebirala naddala ekyakasembayo eky’okugabira amasaza ga Buganda Tractor ezirima ng’emu ku nteekateeka ezaakulembeddemu okukuza amazaalibwa.
“Ayi Ssaabasajja Kabaka waffe, Nsaba Katonda ayongere okukufuula omukutu ogw’emirembe n’enkulaakulana”
Ssaabasumba agambye nti obuwangaazi bwa Ffumulizannyiramubwengula Ssanyulyabuganda butuleetedde essanyu eritagambika, naddala oluvannyuma lw’okuyita mu kigezo ekitagambika Omutanda lweyatawanyizibwa ennyo obulwadde mu 2024.
“abakyaamu nga baayoogera!. Katonda tumwebaza olw’okubasirisa”
” Katonda waffe agulumizibwe, twongere okuwoonga n’okujaganya, Katonda awangaaze Ssaabasajja” – Ssaabasumba Paul Ssemogerere
Ssabasumba aloopedde Ssaabasajja nti Kalidinaali Emmanuel Wamala emikolo gy’okukuza amazaalibwa ge agigoberera butereevu okuyita ku TV, era ng’amusabira.
Mu mwaka guno 2025 Kalidinaali Wamala agenda kuweza emyaka 99 egy’obukulu.
Okusaba kwetabiddwako Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga n’abamyuka be, Nnaabagereka Sylivia Nagginda, Nnaalinnya Agnes Lubuga, abalangira n’abambejja, ba minister b’Obwakabaka ne government eya wakati abaliko naabaawummula, ne bannabyabufuzi bangi ddala.