Sipiika wa Parliament ya Uganda Rt. Hon Nnaalongo Annet Anitah Among agambye nti government kisaanidde okussa oluguudo olw’enjawulo ku nguudo ez’olukale zonna okuwa omwagaanya ambulance okwanguya abalwadde okubatuusa mu malwaliro.
Abadde ku kkanisa ya All Saints e Nakasero mu kusabira omugenzi Hon Sarah Mateke abadde minister omubeezi ow’ebyokwerinda, eyafudde olw’okwesiba kw’omutima.
Sipiika agamba nti akalippagano k’ebidduka akasusse ku makubo akakwata ne Ambulance kakoze kinene okusaanyaawo obulamu bwa banna Uganda, n’okukosa ebyenfuna olw’obudde obungi abantu bwebamala ku makubo.
Okusaba kuno kukulembeddwamu Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda The Most Rev Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu.
Parliament era etegese olutuula olw’enjawulo okujjukira n’okukungubagira Minister Mateke oluneetabwamu n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.
Minister Sarah Mateke era abadde omubaka omukyala owa district ye Kisolo yafa ku saturday nga 7 September,2024.#