Wabaddewo akasattiro mu Oyam County North mu district ye Oyam,ng’okulonda tekunatandika, obumu ku bubookisi bwebusangiddwa nga busumuluddwa ‘ ‘seal’ zabwo, ekisattiza abamu ku ba Agent babeesimbyewo.
Abalonzi mu district ye Oyam naddala mu kitundu kya Oyam county North, bakedde kukkira bubookisi okukuba akalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka w’rkitundu ekyo.
Kyalimu minister eyali ow’abakozi Rtd Col Charles Engola Machodwogo Okello, omukuumiwe Pte Wilson Sabiiti gweyakuba amasasi nga 2 May 2023 n’amutta.
Wabula newankubadde obubokisi busangiddwa nga busumulule, bayise bukubirire abakwatibwako okwekeneenya ekiviriddeko obuzibu era nekizuulibwa nti bwakutukidde mu mmotoka nga babutambuza okuva e Kampala ku kitebe kyebyokulonda.
Abamu ku ba Agent baabesimbyewo bategezezza CBS nti newankubadde embeera ebadde ebasobedde, bekennenyezza obubookisi nebasalawookulonda kugende mu maaso, oluvanyuma lwokuzuula ng’ebiri munda mu bubokisi tebyataataaganyiziddwa.
Akulira eby’okulonda mu Oyam Richard Onoba Olwa, agambye nti obuzibu tebubadde bwabwe era abakwatibwako bakanyizza ku nsonga eno.
Abalonzi emitwalo 9 mu bifo 167 ebirondebwamu bebasuubira okwetaba mu kulonda kuno, wabula ng’enkuba ekedde okutonnya etaataaganyizza ebitundu ebimu.
Omwogezi w’akakiiko k’okulonda Paul Bukenya agambyr nti ebitundu byonna enkuba gyetonnye okulonda kuyimiriziddwamu okumala ekiseera.
Abeesimbyewo bali 4 okuli munna kibiina kya NRM Samuel Okello Engola mutabani w’omugenzi Charles Okello Engola, munna FDC Freddy Newton Okello, munna NUP Okello Daniel ne munna UPC Apio Oyuko Eunice bebesowoddeyo okuvuganya ku kifo kino, newankubadde ngebiriwo biraga nti munna NRM ne munna UPC bebaliko okuvuganya okwamanyi.
Bisakiddwa : Ddungu Davis