
Empaka za FIFA World Cup ez’omwaka ogujja 2026 zigenda kutegekebwa America, Canada ne Mexico, nga zakuzanyibwa okuva nga 11 June, okutuuka nga 19 July,2026, zakuzannyibwa mu bibuga 16.
Empaka zino eza FIFA zezigenda okusookera ddala okwetabwamu amawanga 48 okuva ku mawanga 32 agabadde gavuganya mu mpaka eziyise.
Amawanga gonna 48 gagenda kusengekebwa mu bibinja 12, nga buli kibinja kigenda kubeeramu amawanga 4.
Okukwata obululu kuyindira mu kibuga Washington DC ekya USA, mu John F. Kennedy Center.

Eyaliko nakinku mu kucaanga endiba ku club ya Manchester United era omungereza Rio Ferdinand yoomu ku bagenda okukulemberamu omukolo guno.


Ssemazinga Africa agenda kukiikirirwa amawanga 09 okuli Morocco, Senegal, Algeria, Cape Verde, Ivory Coast, South Africa, Tunisia, Ghana ne Misiri, wabula wakyaliwo omukisa omulala ogwa DR Congo singa enaaba eyiseewo mu kasengejja akasembayo.
Uganda Cranes tekiikangako mu mpaka zino, nga ne kumulundi guno yakomye ku munaabo.
Argentina ye yawangula empaka ezasembayo mu 2022 e Qatar.
Bikuηηaanyiziddwa: Isah Kimbugwe












