Akakiiko k’ebyokulonda mu FDC kategese okulonda kw’obukulembeze bw’ebitundu okwetoloola eggwanga lyonna, wakati mu kusika omuguwa, ng’abakulu abamu bagala kusooke kuyimirizibwe.
ssentebe wa FDC mu Uganda Ambassador Wasswa Biriggwa agambye nti okulonda tekulina kugenda mu maaso, olw’obulippo obukwetobeseemu nti kubanga ekibiina kya NRM kyekivujjirira entegeka zino nekigendererwa eky’okwekuumira mu buyinza.
Nakazadde wa FDC era nga yaliko president wakyo Dr.Kiiza Besigye naye yabawadde amagezi okuyimiriza okulonda,basooke bagonjoole enjawukana ezaabaluseewo mu kibiina.
Enjawuka zaavudde ku bamu ku bakulira ekibiina abakulembeddwamu omwogezi wakyo Ibrahim Ssemujju Nganda, omumyuka wa president Erias Lukwago, akulira eby’ensimbi Francis Mwijukye okulimiriza president wabwe Patrick Amuriat ne Saabawandiisi Nathan Nandala Mafaabi okufuna ensimbi okuva mu government ya NRM mu kalulu ka 2021, n’ekigendererwa eky’okutundayo ekibiina kyabwe.
Wabula Nandala ne Amuriat baabyegaanye,nga bagamba nti sente ezoogerwako tebazimanyi.
Okusinziira ku kiwandiiko ekyassiddwako omukono gw’akulira ebyokulonda mu FDC Toterebuka Bamwenda, okulonda kw’ebyalo n’emiruka kutandika leero nga 21 okutuuka nga 23 July ,2023.
Ssabawandiisi wákakiiko ke byókulonda mu FDC Ojabile Augstine agambye nti wadde nga abakulembeze balwanagana tekibagaana kugenda mu maaso n’enteekateeka z’ekibiina endala.
Agambye nti bamaze ekiseera nga betegekera okulonda kuno, nti kubanga ekibiina kirina obudde butono okutegeka okulonda omwaka guno,okuva ku byalo okutuuka ku president.#