Saza ly’Ekerezia erye Masaka buli nga 18, February lweliramaga e Bugoma Ssese mu district ye Kalangala, abaminsane abakatoliki abaaleeta eddiini eyekikatoliki mu Uganda we basookera ddaka okulinnya ekigere kyabwe ku ttaka lya Uganda.
KIgambibwa nti abaminsani Amans ne Mapeera baagoba e Bugoma Ssese nga 15 February,1879 esaawa zaali nga kkumi ez’olweggulo.
Eklezia Katolika mu Saza lye Masaka yateekawo okulamaga mu kifo kino ekye Bugoma buli mwaka okujjukira n’okussa ekitiibwa mu Baminsani bano Amans ne Mapeera abaaleeta ekitangaala Kya Kristu mu Uganda.
Abaminsani bano bwebaali bava mu Tanzania mu lyato, baatuukira Bugoma ekiri mu Saza lye Masaka nga wano webaava nebagenda e Kigungu Entebbe, okusisinkana Ssekabaka Muteesa omubereberye eyabayita bajje basomese abantu be mu Bganda eddiini mu 1879.
Wabula ekire kye nkuba ekikedde okufudemba mu bitundu bye Saza lye Masaka, kitaataganyizaamu abalamazi abamu okuva e Masaka.
Ekidyeri ekisooka kyabadde kya kusimbula okuva e Bukakata ku ssaawa emu eyokumakya nga kyakusomba abalamazi emirundi ebiri, wabula enkuba tekiganyizza olw’abantu okulemererwa okutuuka mu budde olw’enkuba efudembye obutasalako.
Missa y’okulamaga e Bugoma ekulembeddwamu Omusigire w’Omusumba we Masaka era Omulamuzi omukulu, Musonyooli Dominico Ssengooba.
Bisakiddwa: Tomusange Kayinja