Abakkiriza ab’enzikiriza ezisuusuuta Kristu beyiye mu bungi mu klezia ne kanisa, okukuza okunaku lwa Ppaasika olw’amazuukira ga Yezu Kristu.
Ku lunaku luno okubuulira kwa bannaddiini n’abakulembeze abenjawulo, bebazizza Katonda olw’obulamu bwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II eyawezezza emyaka 70.
Essira era lissiddwa nnyo kukuuma emirembe mu kalulu akajja 2026, abakulembeze abalemereddwa okuweereza abantu, abatyoboola obutonde bw’ensi, abakuuma ddembe abatulugunya bannauganda, abantu abasuuliridde ekitiibwa ky’amaka n’empisa, okubbulula eby’obulimi n’obulunzi ebigenda okuyamba abantu okwekulaakulanya.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu mu Buganda okuteeka ku bbali okwekubagiza wabula bakole nnyo, ebirungi bibasange mu maaso.
Katikkiro abadde mu mmisa eyimbiddwa mu Eklezia Queen Mary of peace e Lugazi mu Kyaggwe mweyeebalizza abakulembeze ba Kabaka okukwatirako Abantu okwekulaakulanya, nga bayita mu byobulimi, Okulunda nÓkuvuba.

Katikkiro mungeri yeemu alabudde ku basekeeterera Obwakabaka nékigendererwa ekyokugikuumira e Mabega nti bano bali ku byaabwe ,naasaba abantu ba Buganda obutabawa budde.
Omusumba wÉssaza lye Lugazi Kitaffe Christopher Kakooza nga yakulembeddemu ekitambiro kya mmisa ,asabye abantu ba Katonda okwezza obugya nga bakozesa ekisiibo ekikomekkerezeddwa.

Omwami wa Ssaabasajja amulamulirako essaza Ssekiboobo Vincent Bintubizibu yebazizza Omukama Katonda olwenkolagana ennungi wakati wÓbwakabaka n’ Eklezia , nga kino akisimbulizza ku birungi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda II byaaba akoledde essaza lye Kyaggwe , omuli eddwaliro lye Nyenga, Amasomero omuli erya Nasale Beene lyeyalagira liweebwe abantube.
Mu mmisa eno essaza lye Lugazi litonedde Ssaabasajja Kabaka ekirabo , nga bwanasiima kyakufuuka Amakula.
Mu lutikko e Namirembe, omulabirizi we Namirembe Moses Banja, atenderezza Beene olwokukulemberamu olutalo lw’okulwanirira Obulamu bwabantu naddala okulwanyisa endwadde nga mukenenya nebirala naasaba abantu okwongera okwefaako.
Omulabirizi Banja era ajjukiza abakulembeze naabebyokwerinda okwewala ebikolwa ebyokutulugunya abalala nokubatyamya eggwanga lyabwe nga batuuse nokuliddukamu olwokutulugunyizibwa.

Mu kusaba mu lutikko e Lubaga,Omulangira David Kintu Wassajja gyasinzidde naddamu okujjukiza Government eyawakati okusasula n’okuzza ebintu bya Buganda, n’agamba nti Buganda ekyalina okusomoozebwa kw’ebintu byaayo ebikyawagamidde mu Mikono gya gavumenti, Ssonga ssinga bigiddizibwa Buganda egenda kubaako wetuuka
Omulangira asabye abantu ba Kabaka okujjumbira okulima Emmwaanyi wakati mu kusomoozebwa okwenjawulo, nategeeza nti weewokka webagenda okugya ensimbi bekulaakulanye.
Ssabasumba wÉssaza ekkulu erya Kampala Paul Semogerere yakulembeddemu ekirambiro kya Missa y’amazuukira, alabudde abazadde ku nneeyisa yÁbaana etali nungi ensangi zino, ebawalirizza nÓkwegya mu bulamu bwÉnsi eno,era asabye Abaana obutafuukira bazadde kizibu, nga beewala ebiragalalagala, okukendeeza ku mujjuzo mu bifo awakuumirwa abaliko obuzibu ku mitwe.
Minister omubeezi owÁmatendekero agawaggullu Owek Dr John Crisestom Muyingo asabye abantu ba Uganda okuteeka ku bbali langi zÉbibiina byÓbufuzi , effujjo erikolebwa mu kunoonya Obululu, olwo Uganda esigale nga eri bumu.

Omulabirizi w’obulabirizi bwe Mityana kitaffe mu katonda Ssaalongo James Bukomeko asinzidde mu lutikko Y’Omutukuvu Andrew e Namukozi, nawabula banna Uganda abayayaanira emirembe mu Uganda ne mumaka gaabwe okuva mu kunaanya, batandike okukolerera emirembe egyo nga bafiisa n’okwesonyiwa ebimu ku bintu byebamanyi obulungi nti bisanyaawo emirembe.
“Emirembe gyiyinza okulwawo okujja singa tewabaawo kugikolerera” bishop Bukomeko
Mu kusaba kuno omubaka omukyala owa District ye mityana Joyce Bagala Ntwatwa mwasinzidde neyeyanza nnyo nnyinimu Namunswa Ssaabasajja kabaka olwobubaka bwa pasika bweyawadde abantu ba Buganda n’agamba nti buli lwebafuna eddoboozi eriva embuga nabo amaanyi gabeyongera
Ssabasumba w’aba Orthodox mu ggwanga Metropolitan Yeronmus Muzeii asinzidde mu eklesia ye Namungoona, nawanjagira abantu nti mu kalulu akajja 2026, balonde abantu abanatuukiriza ebyo ebiruma abantu bave mu kulondesa ekinyumu#