Emikolo gy’okukuza olunaku lw’eyali Ssaabalabirizi Janani Luwumu gigenda mu maaso, ku kyalo Wii- Gweng Mucwini mu district ye Kitgum.
Government ya NRM yasaawo olwa 16 February,buli mwaka okujjuukirirako Ssaabalabirizi Janani Luwum olw’ebirungi byeyakolera eggwanga, okulwanirira eddembe ly’obuntu, okwogera amazima, n’okwogereranga abatalina mwasirizi.
Giweze emyaka 48 bukyanga attibwa ku mulembe gw’eyali president wa Uganda Idi Amiini Ddaada.
Eyaliko Ssabalabirizi w’e Kanisa ya Uganda Archbishop Janan Luwum yakulembera ekkanisa ya Uganda okuva 1974 okutuusa 1977 weyafiira.
Bannaddini saako abakulembeze abalala mu ggwanga bazze bawanjagira government eriko kati eya NRM efulumye alipoota eraga ekituufu ku nfa Janaan Luwum etegeerekeke.
ArchBishiop Janan Luwumu yali enzaalwa ye Kitgum yamala emyaka 3 gyokka mu ntebe yóbwa ssabalabirizi.
Kigambibwa nti yafiira mu kabenje mu Kampala wakati.
Wabula oluvannyuma amawulire gaatandika okusaasaana nti yasooka kuttibwa naalyoka assibwa mu mmotoka eyasuulibwa ku kabenje akagenderere.
Kigambibwa eyali president wa Uganda mu biseera ebyo Ssalongo Iddi Amin Dada Oume yennyini yeyamwettira, ku bigambibwa nti yali asusse okwogera kwebyo ebyali bitatambula bulungi mu government ye.
Ensonga entuufu ekwata ku nfa ya Janani Luwum yasigala eyogeza bannauganda obwama, kati emyaka 48 ekituufu tekimanyiddwa.