Ababaka ba parliament ya Kenya ento basazeewo okuggya obwesige mu mumyuka wa president wa Kenya Rigathi Gachagua.
Ababaka 281 bakkirizza aggyibwemu obwesige, 44 bagaanye, ate omu abadde Nnampawengwa.
Parliament ya Kenya ento eyitibwa National Assembly emazeeko olunaku lulamba nga 08 October,2024 ng’ababaka bakubaganya ebirowoozo ku kiteeso ekyayanjulwa eri parliament eno okugyamu Rigathi Gachagua obwesige
Ababaka abaawoma omutwe mu kiteeso ky’okugoba Rigathi Gachagua baayanjula ensonga 11 zebeesigamako, parliament esiinzireko okugyamu Rigathi Gachagua obwesige.
Mulimu obulyake, okutiisatiisa abakozi ga government, obukuluppya, okuseketerera government ya mukamawe Dr Samoei William Ruto n’okwagala okugisuula ,okukozesa obubi office y’omumyuka wa president n’okudibaga emirimu gya government n’ensonga endala nnyingi.
Rigathi Gachagua alabiseeko mu parliament eno, ensonga zonna ezimuvunaanywa naazegaana.
Sipiika wa parlaiment ya Kenya entono National Assembly ,Moses Wetangula alambise ku ngeri ababaka gyebalina okulondamu akululu kano,nga buli mubaka abadde assomwa erinnya lye, ng’addamu yee oba nedda.
Asomedde parliament ezimu ku nsonga ekiteeso ekyokugyamu Rigathi Gachagua omumyuka wa president, kwekyesigamye.
Ekisaliddwawo parliament ento eya Kenya eya National Assembly kirina okugenda mu parliament ya Kenya enkulu eya Senate, esalewo ekisembayo.#