President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni asabye abakulembeze mu nzikiriza z’eddiini, bakwasizaako eggwanga mu byenkulakulana n’okwagazisa abantu enteekateeka za government ezenjawulo okweggya mu bwavu.
President Museveni obubakabwe bumusomeddwa omumyuka wa sipiika wa parliament Thomas Tayebwa, ku mukolo gw’okujjukira Omugenzi Rev. Eliasaph Sserwadda, taata w’akulira akakiiko akavunanyizibwa ku bamusiga nsimbi mu ggwanga, aka State House Investor protection unit, munna maggye Col. Edith Nakalema.
Omukolo guno gubadde mu district ye Mbarara, era gubaddeko n’okuzimba ekkanisa okumujjukira.
President agambye nti singa bannaddiini basomesa abantu okulwanyisa obwavu, ate n’abazadde nebateekateeka abaana obulungi, basobola okukyusa n’okukulakulanya ensi yaabwe, nga bwekiri ku family ya Col. Edith Nakalema asobodde okukola ebintu ebyettendo mu family ye ate n’eri eggwanga okutwaliza awamu.
Omukolo guno gusoose n’okusaba okwenjawulo okukulembeddwamu, Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The Most Rev. Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu, avumiridde ekibba ttaka ly’amasinzizo ekyeyongedde mu ggwanga.

Eyali ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda ow’omusanvu, Emeritus Henry Luke Orombi, nga yakulembeddemu okubuulira, asabye banna Uganda okwongera okwagalana n’okuba obumu byaganbye nti birina amaanyi agaleetawo enkulaakulana.
Col. Edith Nakalema, ku lwa family, agambye nti kitabwe Rev. Eliasaph Sserwadda, yali muntu ayagala ekkanisa era ayagala enkulakulana, era yamuwandiiseemu n’ekitabo kyeyatumye amanyi g’obwa taata, “The Power of Fatherhood”.
Ku mukolo guno, kubaddeko neenteekateeka y’okulaga ekkanisa aba family n’emikwano gya Col. Edith Nakalema, gyebazimbye okujukira bulamu n’obuwereza bwa kitaabwe.
Ekanisa yakuwemmenta akawumbi ka shilling kalamba ,sso nga yakasasanyizibwako obukadde obusoba mu 650.#













