Kkooti enkulu e Mpigi erangiridde olwa nga 10th March 2023, bw’egenda okuwa ensala mumusango gw’ebyokulonda ogwaloopwa munnakibiina kya NUP Betty Ssentamu,awakanya obuwanguzi bwa munnaNRM Sylivia Nayebare ng’omubaka omukyala owa Gomba District.
Omulamuzi wa kkooti eno Alex Ajiiji afundikidde okuwuliriza obujulizi bwonna mu musango guno.
Betty Ssentamu kaloopa musango guno yaleeta abajulizi 14 ate Nayebare n’aleeta abajulizi 6, wabula akakiiko kebyokulonda kekafundikidde omusango guno n’omujulizi 1 Anna Aheebwa eyali akulira okulonda mu district ye Gomba.
Omulamuzi Ajiiji alagidde enjuyi zonna mu musango guno okuteekamu empoza zabwe ezisigalidde mubuwandiike obutasukka nkomerero y’amwezi ogujja ogwa February, ate olwo nga 10th March kkooti esalewo eggoye mu musango guno.
Mu kalulu kano akakiiko kebyokulonda kaalangirira omubaka Nayebare nti yeyawangula n’obululu emitwalo 30, 253 ate munna NUP Sentamu bwebaali ku mbiranye n’afuna obululu 22,657 ku bululu 55,643 obw’akubwa.
Wabula Sentamu awakanya obuwanguzi bwa Nayebare gwalumiriza okubba akalulu nókugulirira abalonzi, nokukozesa amagye okukola vvulugu yenna mu kalulu kano.
Kkooti ejulirwamu yalagira omusango guno okuddamu okuwulirwa, oluvannyuma lwokukizuula nti kkooti enkulu yagugoba awatali nsonga ya Ssimba.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam