Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu amatendo egikoleddwa Bboodi ya Radio ya Kabaka CBS, mu myaka 6 egiyise.
Katikkiro Mayiga asisinkanye ba Mmeemba ba Bboodi ya CBS mu Butikkiro, okubeebaza obumalirivu, obwagazi n’okwewaayo okuweereza Kabaka mu kitongole kye nebakikuumira ku ntikko mu by’empuliziganya mu Uganda.
Abasiimiddwa ye; Omukungu Mathias Katamba (ssentebe), Owek.John W Katende, Omuk. John Fred Kiyimba Freeman, Omuk. David Balaaka, Omuk. Mansoor Bunnya, Omuk. Solome Nassejje Luyombo, Omuk. Jamir Ssewannyana, Owek. Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwawo, Owek. Kaddu Kiberu ne Omuk. Michael Kawooya Mwebe era nga ye ssenkulu wa CBS.


Kamalabyonna agambye nti abakulu bano batambulidde bulungi ku miramwa agyatandisaawo Radio CBS omuli; Okutuusa Amawulire ku bantu, Okutumbula ebitone, Okutonderawo abantu ba Kabaka emirimu naddala abavubuka, Okuleeta enkulaakulana naddala nga bayita mu bittavvu bya CBS PEWOSA, Okutumbula Obuwangwa n’ennono za Buganda naddala Olulimi Oluganda.
“Ekimu ku bisobozesezza Buganda okusenvula ku mulembe guno Omutebi, bwebumalirivu n’okwagalaa abantu bwebalina mu kuweereza Ssaabasajja” – Katikkiro Mayiga


Katikkiro asiimye olw’okuwaayo obudde bwabwe n’emirimu gyabwe egy’obuntu nebaweereza Kabaka n’okwenyigira mu nteekateeka z’okuzza Buganda ku ntikko.
Abawadde ebbaluwa ezibasiima eziwangiddwa, naabagabula n’ekijjulo.



Minister w’Amawulire, Okukunga abantu era Omwogezi wa Buganda Owek. Israel Kazibwe Kitooke ayogedde ku ba mmemba ba Bboodi bano ng’abantu abakoze obutaweerera okucuusa enkola y’emirimu mu kitongere kya Radio CBS, okugikuumira ku ntikko y’okuweereza abantu ba Kabaka.

Ssentebe wa Bboodi ya CBS Omuk. Mathias Katamba ku lwa banne yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima n’abalonda okuweereza mu ttuluba eryo nebeeyama okuweereza ku mitendera gyonna gyanaasiima okubatuma.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.