Kizuuliddwa nti eggwanga lyafiirwa obuwumbi 6 n’obukadde 890, oluvanyuma lwokusazibwamu kw’okulonda kw’obukiiko bwabakyala okwalina okubaayo omwaka oguwedde 2022 mu mwezi ogwomusanvu.
Akakiiko kebyokulonda mu mwaka ogwo, kaali katandiise ku nteekateeka zokulondesa obukiiko bwabakyala okwetoloola eggwanga lyonna, okuva ku byaalo okutuuka ku lukiiko lwabakyala olweggwanga lyonna.
Wabula okulonda kuno kwasazibwamu ,akakiiko kebyokulonda bwekaategeeza nti tekaalina nsimbi ziteekateeka kulonda kuno.
Ku buwumbi 35 ezaaki zeetaagisa government yali ekawaddeko obuwumbi 15 kwekusalawo okuyimiriza okulonda
Ssabalondoozi w’ebitabo bya government John Muwanga okunonyereza kweyakoze ku nteekateeka eno, yakizudde nti enteekateeka eno ekiseera weyayimirizibwa, akakiiko kebyokulonda kaali kakasaasaanya obuwumbi 6 nobukadde 890.
Ssabalondoozi webitabbo bya gavunent John Muwanga akinogaanyiza nti obukulembeze bwobukiiko obuliwo buliwo mu bumenyi bw’amateeka ,ekisanja kwaabwo kyagwako ng’ennaku zomwezi 23 omwezi ogwa August omwaka 2022.
Wabula yadde obukiiko bwabakyaala buno bwagwako, Cbs radio eno ekitegeddeko nti bangi ku bakulembeze bobukiiko buno bakyaali mu office era basaasaanyizibwako ensimbi zomuwi w’omusolo ,abaali baaweebwa emmotoka za government bakyazirina era baweebwa amafuta nokuweebwa ensako
Ssabalondoozi webitabbo bya gavunent alagidde akakiko kebyokulonda kakwatagane nebitongole ebikwaatibwaako okuli ministry yebyensimbi ne palament okulaba nti ensimbi ezetaagisa zinonezebwa ,okulonda kw’obukiiko buno kutegekebwe.#