Abamu ku bannakibiina kya FDC batudde mu nsinsinkano eyenjawulo, okusala amagezi ku ngeri gyebasobola okutaasa ekibiina kyabwe kyebagamba nti kyolekedde okutwalibwa ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM.
Aba FDC bakungaanidde ku Sharing Hall Nsambya mu Kampala.
Omwogezi w’ekibiina Ibrahim Ssemujju Nganda agambye nti byonna ebigenda mu maaso byolekedde okusanyaawo FDC eyatandika nga 16 December, 2004 n’ekigendererwa ekireetawo enkyukakyuka mu bukulembeze bw’eggwanga lino.
Awadde eky’okulabirako eky’ensimbi ezitamanyiddwa muwendo na gyezaava, zagambye nti zezaavugirira akalulu ka Patrick Amuriat okuvuganya ku bwa president mu 2021.
Nganda yerayiiridde nti simwetegefu kutundibwa mu kibiina ng’endibota, n’agamba nti ebiri mu FDC bwebityo bwebyatandika mu UPC ne DP nebikomekkereza nga bikoze omukago n’ekibiina kya NRM.
Omubaka wa parliament akiikirira Buhweju West Francis Mwijukye, agambye nti wadde ensimbi ezogerwako zaawerezebwa mu kibiina nti naye tezaatuuka ku kitebe ky’ekibiina zaakoma mu mikono gy’abantu ab’olubatu abalina ekigendererwa eky’okutunda ekibiina.
Ensinsinkano ya banna FDC eno yetabyemu ba ssentebe abatwala FDC mu district ez’enjawulo abasobye 120.
President wa FDC Patrick Amuriat ne Ssaabawandiisi Nathan Nandala Mafaabi, wadde nga bebamu ku babadde basuubirwa okwogerera mu lukungaana luno, naye tebalabiseeko.
Okusinziira ku bbaluwa etteereddwako omukono gwa ssaabawandiisi, agamba nti olukungaana luno lwategekeddwa mu bukyamu.#