Ekitongole ky’obwanakyewa ki Stroke Foundation Uganda kibakanye ne kaweefube w’okusomesa abantu ebikwata ku kirwadde ky’okusannyalala (stroke), okuyambako ababeera bakubiddwa ekirwadde okuddusibwa amangu mu ddwaliro mu kifo ky’okusooka okuliyita eddogo.
Dr.Bukenya Ibrahim owa Stroke Rehabilitation Centre agamba nti stroke esobola okukuba ebitundu by’omubiri eby’enjawulo nebisannyalala, oba okuziba omumwa, era nga tetaliza myaka abato n’abakulu ebakwata.
Dr. Bukenya agamba nti abantu abamu batera okufuna obubonero obubalabula nga tebanafuna stroke, wabula olw’obutamanya kyakukola besanga basanyaladde, ate n’abantu abababeera okumpi nebatayanguwa kubatwala mu ddwaliro nga balowooza nti babeera babaloze.
Annyonyodde nti endwadde eno eya stroke ekwata bwongo, ng’eretebwa oluvannyuma lw’obusuwa obutwala omusaayi ku bwongo okufuna ekizibu, empewo ey’obulamu nebeera nga nayo tekyatuuka ku bwongo, obutafaali bw’obwongo nebufa.
Obulwadde buno busobola okukwata omwana omuwere n’abakaddiye.
Dr. Bukenya agamba nti singa omuntu akubiddwa stroke ayanguwa okuddusibwa mu ddwaliro asobola bulungi okuwona natereera, wabula obuzibu obubaawo nti abantu abamu basooka kuliyita ddogo, obulwadde nebwongera okumukosa ekiddirira kubeera kugongobala.
Mu nteekateeka eno Stroke Foundation Uganda etegese emisinde mubuna byalo eginabaawo ku sunday ejja nga 13 October,2024 e Wampeewo ku Gayaza road ewali ekitebe kyabwe, akajoozi ka shs emitwalo 25, 000/=.
Mu ngeri yeemu batagese n’omusomo ogwenjawulo ogugenda okwetabwamu abantgu abalina ab’oluganda baali bakubiddwa Stroke, okubabaangula okumanya angeri entuufu ey’okubalabiriramu.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius