Obululu bw’ebibinja obw’empaka za masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere season ya 2023 bukwatiddwa olwaleero wano ku mbuga ya Buganda enkulu e Bulange e Mengo era ttiimu za masaza zonna 18 zisengekeddwa mu bibinja 3, nga buli kibinja kiteereddwamu ttiimu 6.
Bannantamegwa b’empaka ezasembayo aba Busiro batereddwa mu kibinja Muganzirwazza ne Gomba, Mawokota, Ssese, Kabula ne Mawogola.
Mu kibinja Masengere mutereddwamu Buddu, Buluuli, Kyadondo, Kkooki, Buwekula ne Kyaggwe.
Mu kibinja Bulange mutereddwamu Ssingo, Butambala, Bugerere, Bulemeezi, Buvuma ne Busujju.
Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka empaka zino, Sulaiman Ssejjengo, agambye nti mu bwangu bagenda kufulumya ensengeka y’emipiira ttiimu zonna nga bwezigenda okwezannya mu bibinja, bwatyo nasaba amasaza gonna okutandika okuteekateekka ttiimu zaazo mu budde.
Obululu buno bukwatiddwa mu lukiiko ttabamiruka olwetabidwamu abakulembeze ba ttiimu z’amasaza, era mubaddemu okuyisa amateeka amapya ate n’okukuba ttooki mu mpaka ez’omwaka omukadde.
Empaka za masaza ez’omwaka guno zisuubirwa okutandika nga 24 June,2023 era za kuggulibwawo mu ssaza Busiro singa wanaaba tewali kikyuseemu
Essaza lya Busiro bebannantameggwa ba 2022.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe.