Kyadaaki akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga kakakasizza emikono egyabaweereddwa ekibiina kya NUP, oluvanyuma lw’akakiiko okusooka okutegeeza nti mikono egimu ekibiina gyekyabawa nti gyali mikyamu.
NUP era eweereddwa satifikeeti ebakakasa nti batuukiriza buli kimu.
Robert Kyagulanyi Ssentamu aweereddwa olwa nga 24 September,2025 lwagenda okusunsulibwako, ku ssaawa munaana ez’emisana.
Akulira oludda oluvuganya government era omwogezi wa NUP Joel Ssenyonyi agambye nti okubalagira okunoonya emikono emirala kaali kakodyo okugaana omuntu wabwe okusunsulwa ku lunaku lwe lumu ne president Museveni.












