NUP etandise okusunsula abagala okufuna kaadi y’ekibiina, okuvuganya ku bifo by’ababaka ba parliament, abagala okwesimbawo mu district ye Wakiso, West Nile ne Kigezi bebasoose okusuunsulwa.
Abegwanyiza bendera, babadde bagenda eri akakiiko akavunaanyizibwa ku by’okulonda mu NUP aka Election Management Committee, akabadde kabasoya ebibuuzo.
Wabula buli abadde afuluma ekisenge ewasunsulibwa, ng’ategeeza nti ebibuuzo bibadde byabulijjo era nga byangu.
Ebitundu ebiddako okusunsulwa kuliko , Acholi ,Kampala ne Ankole, era ng’okusunsula kwakumala wiiki namba.
Bisakiddwa: Ssekajjijja Augustus












