National Unity Platform etongozza ekitebe ky’ekibiina kino e Mbarara, nga kino kyekigenda okukwanaganya ebitundu by’obugwanjuba bwa Uganda.
Office egguddwawo eri ku Kiswahiri road, okuliraana Independence Park.
Ebitundu ebirala NUP byebadde yakaggulamu ebitebe mulimu Busoga,Rwenzori ne Bunyoro ,nekigendererwa ekyokwongera okubunyisa emiramwa gy’ekibiina kyabwe.
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NUP David Lewis Rubongoya mukwogerako nabantu be Mbarara agambye nti okugulawo ebitebe by’ekibiina kyabwe okwetoloola eggwanga, okumanyisa abantu nti ekibiina kino tekiyimiriddeewo ku kitundu kimu wabula kya ggwanga lyonna.#












