Ekibiina ki National Unity Platform kisazeewo okugenda mu kooti kirwanirire obuwanguzi bw’abantu babwe bebagamba nti babbibwako obuwanguzi bwabwe ku bifo by’ababaka ba Parliament.
NUP egamba nti era netegefu okulwanirira abantu babwe abaatandise okuggulwako olutalo lwokugyibwako ebifo byabwe nga bakozesa amateeka.
Mu lukuηaana lwa bannamawulire olutuuzidwa ku kitebe kya NUP e Makerere Kavule ,Ssaabawandiisi wa NUP, David Lewis Rubongoya agambye nti abantu babwe bangi babbibwako obululu, ekyalemesezza n’ekibiina okuweza ababaka ba parliament abasoba mu 100 bebaali basuubira.
Agambye nti bagenda kulwana bwezizingirire mu mateeka banunule buli kifo ekyababbiddwako.
Rubongoya asinzidde agambye nti wadde tebalina bwesige mu kkooti, naye waakiri abeemulugunya bagendeyo okwemulugunya kwabwe kugende ku likodi.
Mu ngeri yeemu agambye nti ng’ekibiina bakyali ku bunkenke bw’abantu babwe abasukka mu 800 abali mu makomera, nga bakwatibwa mu kalulu kano
Agambye nti balina enkalala z’abantu babwe bonna abaakwatidwa mu kalulu kano era balwana kubanunula.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif













