Munnakibiina kya NUP Betty Sentamu addukidde mu kkooti ejulirwamu ngáwakanya ekya kkooti enkulu okugoba omusango gw’ebyokulonda ng’awakanya obuwanguzi bwa Munnakibiina kya NRM Sylivia Nayebare ng’omubaka omulonde owa District ye Gomba.
Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mpigi Alex Ajiiji yagoba omusango guno oluvannyuma lw’okukizuula nti Sentamu teyalina bujulizi, ku mivuyo gyalumiriza Nayebare okwenyigira mu kubba akalulu n’okugulirira abalonzi.
Kkooti era yalagira Sentamu okuliyirira Nayebare ekitundu kyensimbi zeyayoononera mu musango guno.
Wabula Sentamu awandiikidde kkooti ejulirwamu ngágitegeeza nti agenda kujulira ensala eno mu kiseera kitono nti kubanga yalimu ebituli bingi.
Kinnajjukirwa nti kkooti ejulirwamu yalagira omusango guno okuddamu okuwulirwa, oluvannyuma lwokukizuula nti kkooti enkulu yagugoba awatali nsonga ya Ssimba, kyokka kkooti enkulu era yazeemu okugugoba.