Ebibiina by’obufuzi biweereddwa enkalala z’abalonzi bonna mu ggwanga mu kalulu ka bonna akagenda okukubwa nga 15 January,2026, era NRM ne NUP byebisoose okunonayo enkalala.
Aba NRM abakwasiddwa enkalala zino bakulembeddwamu Ssaabawandiisi w’ekibiina Richard Twodongo, bazitisse ku lukululana eri mu langi za kyenvu.
Richard Twodongo atendereza omulimu ogukolebwa akakiiko keby`okulonda.
Ekibiina kya NUP kisindise tiimu y’abantu 20 ababadde bakulembeddwamu Alex Lwanyaga.
Aba NUP enkalala z’abalonzi bazitwalidde ku Kabangali bbiri, wabula bagugumbudde nnyo akakiiko keby`okulonda olw’okuzibawa nga wasigaddeyo ennaku 7 zokka okulonda kutuuke.
Omwogezi w’akiiko keby`okulonda Julius Mucunguzi, agambye nti bagoberedde mateeka kyegalambika, ku by’okuwa abesimbyewo ku bwa president enkalala z’abalonzi.
Abavuganya ku ntebe ya President wa Uganda bali 8, ababiri bebakanona enkalala.#
Bisakiddwa: Musisi John












