Bannakibiina kya NRM nga bakulembeddwamu Ssaabawandiisi w’ekibiina Richard Tadwong bazizzaayo emikono gy’abasemba ssentebe wabwe era president wa Uganda aliko, Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa okuddamu okuvuganya ku bwa president mu kalulu ka 2026.
Ekibiinja kya bannaNRM ky’olekedde akakiiko k’eby’okulonda mu Kampala okutwalayo emikono gy’abawagizi, bagenze bawerekera lukulunala kwebabadde batisse emikono gyebakuηaanyizza, wabula bonna tebakkiriziddwa kuyingira munda mu wofiisi z’akakiiko.
Ssaabawandiisi wa NRM Richard Tadwong agambye nti emikono gyebatutteyo gibadde gisoba mu bukadde obubiri n’ekitundu (2.5m).
Mu ngeri yeemu ne FDC ezizzaayo emikono gyayo egisemba Nathan Nandala Mafaabi okuvuganya ku bwa president bwa Uganda mu 2026.
Abantu 15 bebaakazzaayo empapula ezisaba okwesimbawo n’emikono gy’ababasemba.
Buli asaba okwesimbawo ku bwa president ateekeddwa okuleeta emikono egitakka wansi wa 100, okuva mu buli district wakiri eziwera 98.
Abantu abasoba mu 180 bebaggyayo empapula, omuli abaasindikibwa ebibiina n’abajja ku lwabwe.
Nsalesale w’okuzza empapula wa nga 24 September,2025, abantu 15 bebaakazikomyawo ku bantu abasoba mu 180 abaasaba, era kati wasigaddeyo ennaku 12 zokka nsalesale atuuke.
Abalala abazzaayo eddala empapula zabwe kuliko owa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, Jimmy Akena owa UPC, Joseph Mabiriizi wa Conservative party, Fred Wakuri wa Revolutionary People’s Party, Mubarak Munyagwa wa Common Man’s Party, Michael Nkwanga tajidde mu kibiina, James Mubangizi, David William Magezi, Godfrey Busiku,Dr.Deo Lukyamuzi Kizito n’abalala.












