Omuliro ogutannamanyika weguvudde gukutte ssemaduuka wa Smart Mini supermarket e Busega, ebintu byabukadde nabukadde bitokomose.
Ssemaduuka ono ali wakati wÉssundiro lyÁmafuta erya Shell ne ssemaduuka wÉbizimbisibwa owa Build Max e Busega, okumpi nékifo awasanyukirwa ekya Happy Boyz.
Omuliro guno gukutte zoolekera okuwera ssaawa bbiri ezeekiro, era kitutte akaseera kawanvu police ezikiriza Omuliro okutuuka mu kifo kino.
Wabaddewo obunkenke obutagambika, bannyini Mmotoka ezisimbibwa okumpi nÉkizimbe kino bwebabunye emiwabo nga bazitaasa, ate nga nÓluguudo kwebabadde olwa Nateete Kyengera lubadde lujjuddeko akalippagano.
Police ezikiriza omuliro ekyebulunguludde ekifo okulaba ng’omulro teguddamu kusaasaana, olw’ekikka ekingi ekikyakwatiridde mu bwengula nga kiva mu kizimbe kya Supermarket ekutte omuliro.