Abatandiisi b’amassomero g’obwannanyini aga Secondary mu Greater Mukono bagamba nti enteekateeka empya ey’ebisomesebwa abayizi ebakaluubiridde, eby’okujiteekesa mu nkola byabuseere.
Bagamba nti bingi ebyetaagisa byabuseere tebasobola kubyetusaako, kwekuwanjagira government okubakwasizaako, okulaba ng’enteekateeka eno eya New Lower Secondary Curriculum etambula bulungi.
Mu mwaka ogwa 2020 government yavaayo n’enteekateeka y’ebisomesebwa abayizi ku mutendera gwa Secondary eyitibwa New Lower Secondary Curriculum.
Curriculum eno egenderera okuwa abayizi obukugu mu bintu eby’enjawulo obugenda okubayamba okukola n’okwetandikirawo emirimu nga bamalirizza emissomo.
Abatandiisi b’amassomero bano ag’obwannanyini mu bitundu ebya Greater Mukono nga bakulembeddwamu Ssentebe wabwe Maj.David Malinga basinzidde ku ssomero lya Mt.St.Mary’s College e Namagunga mu district ye Mukono, nga babangulwa ku nteekateeka eno empya ey’ebisomesebwa abayizi (New Lower Secondary Curriculum).
Bagala government eyongere nookubangula abasomesa babwe mu masomero g’obwannanyini nti kubanga abasinga obungi curriculum eno empya bakyajitankana.
Akulira eby’enjigirizza mu district eye Buikwe Musaasizi Julius Kizito akiiridde Commissioner w’amassomero ag’obwannanyini mu Ministry y’ebyenjigirizza n’emizannyo mu ggwanga Edward K.Ssebukyu, asabye abatandiisi b’amassomero bano nti bakozese ebintu ebibetoolodde ebiri mu bitundu byabwe okuteekesa mu nkola Curriculum eno empya.
Musaasizi Julius era bano abalabudde nti bakomye okumala gakyusa-kyusa basomesa n’abakulu b’amasomero, nti kuba kitaataganya okusoma kw’abayizi naddala abali ku nteekateeka eno empya eya New Lower Secondary Curriculum.
Bisakiddwa: Kawere Wilber