Nabbambula w’omuliro asaanyizaawo emaali y’abasuubuzi ya bukadde nabukadde bwa nsimbi, ku mwalo gwe Kigungu mu kibuga Ntebe.
Abazinyamwoto okuva ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe bebayambye nebaguzikiza nga tegunasanyaawo mwalo gwonna.
Kigambibwa nti omuliro guno gwatandikidde mu kayumba k’omusuubuzi omu eyabadde afumba ne yelabirako e sigiri,okwavudde amanda,ne gakwaata ebintu negulandira obuyumba bw’abasuubuzi bwonna.
Omwalo guno ogwe kigungu gwe gumu ku myalo emikulu mu kibuga kye Ntebe, era nga gutaawanyizibwa nnyo omuliro, nga mu bbanga lya myaka 5 guno omulundi gwakusatu, omuli ogwasanyaawo emmaali mu 2021 ne 2023.
Bisakiddwa: George William Kakooza












