Omubaka wa paapa eyawummula Ssaabasumba Augustine Kasujja asabye bannabyabufuzi wamu nabakristu okwetondera bannaabwe bebabeera basobezza mu kifo ky’okwekangabiriza n’okwongera okukola ensobi eziteetaagisa.
Ssaabasumba abawadde amagezi okukozesa ekiseera kino ng’ensi yonna erindiridde amazaalibwa g’Omulokozi Yezu Kristu.
Ssaabasumba bino abituuseeko bwabadde akulembeddemu e Miisa eyokukuza olunaku lw’Ekigo kya St Mary Immaculate Centenary Catholic parish e Kireka mu Kira Municipality, mwagatidde n’emigogo gy’abagole 10 abeefunidde essakalamentu lya Matirimunyo .
Abakristu kumukolo gwegumu basoonze ensimbi okumaliriza ennyumba yabassesolodooti ebadde ebulako obukadde bwa shs 50 okuggwa.
President wa Nup Robert kyagulanyi Ssentamu yabadde omugenyi owenjawulo ku mikolo gino asabye abakiriza okwongera okubasabira mukiseera gyebayitamu ekyokulwanira obwenkanya wakati mubisoomozo eby’amaanyi.
Mayor wa Kira municipality Julius Mutebi Nsubuga asanyukidde obubaka bwa Ssaabasumba, bwagambye nti bwakubayamba mu kiseera kyebagendamu eky’okunoonya akalulu ka 2026.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo