Omuddusi nakinku ku mutendera gw’ensi yonna munnauganda Joshua Cheptegei, akutte ekifo kya kutaano mu misinde mubunabyalo egya Amsterdam Marathon egy’omulundi ogwa 50 nga gitegekebwa.
Joshua Cheptegei emisinde gino agiddukidde essaawa 2:04:52, wabula giwanguddwa munnansi wa Kenya Geoffrey Toroitich Kipchumba.
Guno gubadde mulundi gwakusatu nga Cheptegei evuganya mu misinde gya Marathon, era gino gye misinde gyasinze okuddukira obudde obutono ddala.
Abadde yasemba kuvuganya mu misinde gya Tokyo Marathon kuntandikwa ey’omwaka guno, era yagiddukira essaawa 2:05:59.
Yasooka kudduka misinde gya Valencia Marathon mu 2023 era yagiddukira essaawa 2:08:59.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












