Police e Wandegeya mu Kampala eggalidde munnansi wa Buyindi Patel Samir Kumar Arvind Bhai olw’okufumita munnayuganda ekiso ekyamulese ng’ataawa.
Ababiri bano balwanidde ku ssundiro ly’amafuta erya Total erisangibwa e Makerere Kikoni mu gombolola ye Kawempe oluvannyuma lw’ okufuna obutakkaanya.
Patel Ono nga y’akulira kampuni y’amafuta eya HJ Oils Uganda Limited kigambibwa yakkakkanye ku Michael Ssebbowa manager wa Total Makerere naamusogga ekiso, ng’amulanga okubeeramu ebikolwa bya lalogo kalenzi, era kizuuse nti ababiri bano babadde n’obutakkaanya okumala ebbanga ddene ddala.
Mu kiseera kino Ssebowa ajjanjabirwa ku ddwaliro lya Hammar Medical Services e Makerere Kavule.
Amyuka Omwogezi wa police mu Kampala nemiriraano Luke Oweyisigire, agambye nti Patel agenda kuggulwako emisango gy’okugezaako okutta omuntu.
Agambye n’akambe keyakozesezza okufumita Ssebowa gw’ateebereza okumuloga police ekalina ng’ekizibiti.
Bisakiddwa: Kato Denis