Ekibiina kya NUP kiri mukiyongobero olwókufa kwa munnakibiina kyabwe era eyabakwatira bendera mukujjuza ekifo ky’omubaka wa Parliament owa Omoro County, oluvanyuma lwokufa kweyali omubaka wékitundu ekyo era eyali sipiika wa parliament Jacob Oulanya okuva mu bulamu bw’ensi.
Simon Toolit eyakwatira NUP bendera mu kujjuza ekifo ekyo yasaawo okuvuganya okw’amaanyi wakati we ne mutabani weyali sipiika Andrew Ojok Oulanya, kyoka oluvanyuma mutabani wa Sipiika Oulanya yakiwangula.
Simon Toolit afiridde mu ddwaliro lya St Mary’s Lacor Hosiptal e Ggulu.
Omwogezi we kibina kya NUP Joel Ssenyonyi ategezeza cbs nti bafiiriddwa omuntu abadde owamanyi era omukulembeze owenjawulo.
Simon Toolit era yaliko omubaka wa Parliament ku kaadi ya FDC.