Eyaliko ssenkulu wa Makerere University Professor Dumba Ssentamu awadde amagezi abayizi abatikkirwa mu matendekero agawaggula obuteetuulako nga balindirira okufuna emirimu gya woofiisi, wabula balowooze ku mikisa egyibeetoolodde nga batandikawo emirimu egyenjawulo, nga bayita mukunoonyereza kubisoomoza abantu, eggwanga nebitundu gyebava .
Prof. Ssentamu bino abadde akulembedde amatikkira ag’omulundi ogwe 12 ku tendekero lya Multitech Business School e Kakiri mu district ye Wakiso.
Abattikiddwa era abawadde amagezi okunyweeza enkolagana n’emikwano gyabwe basobole okubaako byebakolera awamu okukyuusa obulamu bwabwe .
Prof Dumba Ssentamu mungeri yeemu asabye amattendekero ag’ebyemikono okwongera amaanyi mu kusomesa amasomo ga Tekinologiya .

Dr Menya Muhammed principal w’ettendero lino wamu n’omutandiisi walyo Owek Aloysious Ssemaanda bagambye nti bamattivu nti abayizi bonna bebattikidde ababadde bawerera ddala 680 bajjakusobola okuvuganya obulungi ku katale k’emirimu olw’obukugu obubaweereddwa naddala mu by’okutandikawo emirimu.

Abamu kubayizi abattikiddwa basabye banabwe okweyambisa omukisa oguliwo kati okuddayo basome basobole okwongera okugasa eggwanga.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo