President w’ekibiina kya Alliance For National Transformation era eyaliko omuddumizi w’eggye ly’eggwanga erya UPDF, Rtd Maj.Gen Mugisha Muntu alabudde government nti esaanidde eggye abebyokwerinda mu by’obufuzi by’e ggwanga ,nga singa tebabivaamu bandiretera eggwanga obuzibu gyebujja.
Mugisha Muntu abadde ayogerako eri banna mawulire ku myaka 62 egy’amefuga ga Uganda, nategeeza nti amawanga mangi abe byokwerinda gyebayingidde mu by’obufuzi, amawanga ago negyebuli eno tegafunanga mirembe.
Mugisaha muntu agambye nti government erina okuddayo ku meeza etunuulire ensonga z’abasirikale abayingira eby’obufuzi, ebawumuze bunnambiro babyetabemu butereevu bave mu byambalo by’e ggwanga.
Mu ngeri yeemu Mugisha munntu awadde government amagezi okuyamba abantu abakaaba nadala abagobwa ku ttaka ,naabo abakyakwatibwa nebagweera mu makomera olw’ebyobufuzi .
Bisakiddwa: Lukenge Sharif