Mufti wa Uganda Sheikh Ramathan Mubajje akulembeddemu okusaala Eid E fitr ku Kasozi Kampala Mukadde, avumiridde enkozesa y’Emitimbagano enkyamu nti eviiriddeko naabamu ku ba Masheikh okuva ku mulamwa.
Mufti Mubajje anokoddeyo omukutu gwa Tiktok gw’agambye nti gwetaaga abagukozesa okwongera okubaluηηamizibwa.
Mukusaala Eid El Fitr, District Kadhi we Lyantonde Sheikh Mubarak Ssentale naye alabudde abasiraamu okukomya omuze gw’obutawangana kitiibwa, nti gukuumira obusiraamu emabega.
District Khadhi wa Jinja Shek Ismail Kyeyune agambye nti abasiraamu singa basigala ku mpagi ettaano ez’obusiraamu nebatazikomya ku ngulu, zisobola bulungi okubawanguza.#