Abakungu okuva mu Busiinga bwa Rwenzururu balambuddeko ku Radio ya Kabaka CBS FM, ku bugenyi bwebabaddeko embuga, nga bazze okwebuuza ku nkola y’emirimu egyenjawulo n’obukulembeze mu Buganda, mu kaweefube gwebaliko ow’okuzimba Obusiinga bwa Rwenzururu.
Bakulembeddwamu amyuka Katikkiro wa Rwenzururu Baritazare Kure Benson, ayaniriziddwa Ssenkulu wa CBS Omukungu Michael Kawooya Mwebe, n’abakulira emirimu egyenjawulo
Balambuziddwa ofiisi za CBS ez’enjawulo, era amyuka Katikkiro wa Rwenzururu Baritazare Kure Benson naayogerako eri bannauganda ng’ayita ku mpewo za CBS Emmanduso 89.2, mu ppulogulamu ya Kalasamayanzi eweerezebwa Dr.Kwefu ne Lady Titie.
Omuk.Michael Kawooya Mwebe abategezeezza nti CBS netegefu okugabana n’Obusiinga bwa Rwenzururu obukugu bwerina mu by’empuliziganya, okukuunga abantu okwekulaakulanya, n’okunyweza ennono n’Obuwangwa.