Emikutu gy’Ebyempuliziganya okuli ogwa MTN Group n’Ogwa Airtel Africa gituuse ku nzikiriziganya, okugabana ebikozesebwa okubunyisa ebyempuliziganya eby’omulembe ku bantu bonna.
Enteekateeka eno yakutandikira mu Uganda ne Nigeria.
Enzikiriziganya eno egendereddwamu okutuusa obuweereza eri abantu naddala mu masoso g’Ebyalo ewatali Internet n’essimu gyezitanatuuka bulungi.
President wa MTN group Ralph Mupita ne ssenkulu wa Airtel Africa Sunil Taldar bategeezazza nti enkolagana eno etuukiddwako oluvannyuma lw’Okuzuula nti basobola okukozeseza wamu ebintu eby’omulembe okutuusa obuweereza obusingawo, mu by’empuliziganya omuli Internet n’Okukuba essimu.
Bagamba nti oluvannyuma lw’okutuuka ku nzikiriziganya mu Uganda , obwanga baakubwolekeza amawanga okuli Congo Brazaville, Rwanda ne Zambia okubunyisa Internet wonna.
Mungeri eyenjawulo ababiri bano bategeezazza nti okugatta ebikozesebwa tekugenda kubalemesa kuvuganya nga bweguli ensangi zino, okutuusa obuweereza obwenjawulo ku bantu babwe bebaweereza.
Bisakiddwa: Kato Denis