Ekitongole kya KCCA kiwadde nsalesale wa wiiki 2 eri abatembeeyi abakolera ku nguudo zonna mu Kampala okuba nga bazaamuse.
Wiiki ebbiri zitandise nga 05 February,2026.
Minister wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda Nabbengo, nga Ali wamu ne Ssenkulu wa KCCA Hajjat Sharifah Buzeki akiikiriddwa Omumyuka we Benon Kigenyi, babadde mu lukuηaana lwa bannamawulire ku Media Centre mu Kampala, nebalagira abasuubuzi okwetegula enguudo badde mu Butale.
Ekikwekweto ku bakolera ku nguudo kibadde kitandikirawo, wabula abasuubuzi nebasaba basooke batunde emmaali yabwe mu wiiki 2, balyoke banoonye gyebadda.
Minister agambye nti abatembeeyi baali baawebwamu akalembereza k’ennaku enkulu, wabula bonna bakyalemeddeko ku nguudo.
Ebikwekweto bino era byakutwaliramu abagoba ba boda boda abatalina Stage za nkalakkalira abamanyiddwa nga balubyanza, wamu naba tax abatalina stage.
Hajjat Minsa Kabanda agamba nti ebikwekweto bino tebireeteddwa mu bubi, wabula lwa bulungi bwa kibuga okukiteekateeka kitukagane n`omutindo ogusaanidde.
“Kampala yaffe fenna, abakolera ku nguudo n’abatakoleramu, era fenna twagala ekibuga kibeere kirungi nga fenna kitweyagaza.”
Wabula Minister agambye nti abanaajeemera ekiragiro kino bakusimbibwa mu mbuga z’amateeka zibalamule.
Amyuka Ssenkulu wa KCCA Benon Kigenyi ategeezezza nti ekiragiro bagenda kukitekeesa mu nkola era ebikwekweto byakutandikirawo nga nsalesale aweddeko.
Bisakiddwa: Musisi John












