Minister wébyobutebenkevu Maj. Gen. Jim Muhwezi awaddeyo okwewozaako kwe eri kkooti ejulirwamu ku musango ogwamuwawabirwa nti yagulirira abalonzi okumulonda ku kifo kyómubaka wa Rujumbura.
Muhwezi abadde mu maaso gábalamuzi 3 aba kkooti ejulirwamu okuli Chebrion Barishaki, Stephen Musota ne Christopher Gashirabake.
Munna-FDC Fred Turyamuhweza yajulira mu kooti eno ngáwakanya obuwanguzi bwa Muhwezi.
Mu kalulu akaakubwa nga 14 January 2021, Munna-NRM Jim Muhwezi yafuna obululu emitwalo 23,990 ate Turyamuhweza náfuna emitwalo 20,556.
Turyamuhweza yawakanya ebyava mu kalulu náwaaba mu kkooti enkulu e Kabale, ngálumiriza Muhwezi nti yagulirira abalonzi, nágattako okupakira obululu mu bokisi nókutiisatiisa abalonzi.
Alumiriza nti Muhwezi teyakoma okwo, nti ne mu biseera ebyókuyigga akalulu yagendanga mu nkungaana, mu nnyimbe oluusi ne mu masinzizo nágaba ensimbi nóbulabolabo,ngágulirira abantu okumulonda.
Wabula omulamuzi wa kkooti enkulu e Kabale Phillip Odoki omusango yagugoba olwobujulizi obwenkukunala okubula, kyokka Turyamuhweza teyamatira kwe kujulira mu kkooti eyo ngáyita mu puliida we Jude Byamukama.
Olwaleero Muhwezi ngáyita mu puliida we Mwesigwa Rukutana asabye kkooti eno egobe okujulira kuno, ngágamba nti obujulizi obumuwebwako bwa munguuba.
Ensonga yókugulirira abalonzi ekutte wansi ne waggulu, era abalamuzi batuuse nókubuuza puliida wa Turyamuhweza annyonnyole oba bwógenda okukubagiza abafiiriddwa nówaayo amabugo kitegeeza kugulirira bantu.
Puliida we annyonnyodde nti bwówaayo amabugo nówereekerezaako ebigambo nti mundabiranga ddala, olwo obeera oguliridde abantu.
Wabula Mwesigwa Rukutana puliida wa Muhwezi akalambidde nti omuntu we teyawa nguzi eri muntu yenna.
Abalamuzi basuubizza okuwa ennamula yabwe ku lunaku lwe banaalaga.