Ttiimu y’essaza Mawogola ewanduse mu mpaka za masaza 2021 bweremeredwa okuwangula Busujju olwaleero.
Omupiira gugudde maliri ga goolo 1-1, kyokka nga Mawogola ebadde yetaaga buwanguzi okwerula emikisa gyayo.
Kati Mawogola yegasse ku Busujju abasoose okuwanduka mu kibinja kino.
Embiranye mu kibinja Muganzirwazza esigadde wakati wa Buddu, Butambala ne Buwekula.
Omupiira omulala oguzanyiddwa Butambala ekubye Buwekula goolo 1-0 eya peneti eteebeddwa captain Wabyona Faizo.
Kati Buwekula ekyakulembedde ekibinja kino n’obubonero 7 wabula ng’emipiira gyayo giweddeyo, Buddu yakubiri n’obubonero 7 nga ebuzaayo omupiira gumu ate ne Butambala yakusatu nobubonero 4 nga nayo ebuzaayo omupiira gumu.
Emipiira egisembayo mu kibinja kino, Buddu egenda kuttunka ne Mawogola ate Busujju ettunke ne Butambala ku lw’okusatu sabiiti eno.