Olukiiko oluddukanya ttiimu y’essaza Gomba mu butongole lwanjulidde Bannagomba omutendesi omuggya Simon Ddungu abangi gwe bamanyi nga Ddunga, okutendeka ttiimu eno mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omwaka guno 2025.
Andrew Musasizi ssentebe wa ttiimu eno, yayanjulidde Bannagomba omutendesi ono ku mukolo ogubadde e Nsangi.
Simon Ddungu agenda kumyukibwa Simon Gita, Edgar Bwogi ye Mumyuka ow’okubiri ate Jamada Magaasi ye mutendesi w’abakwasi ba goolo.
Simon Ddungu avudde ku ttiimu y’essaza Buddu beyawangulidde ekikopo kya Masaza omwaka oguwedde 2024.
Simon Ddungu e Gomba azeeyo mulundi gwakubiri, yabatendekako mu 2017 era nabawangulira ekikopo.
Gomba yakawangula empaka zino emirundi 5, mu 2004, 2009, 2014, 2017 ne 2020.
Omwaka oguwedde 2024 Gomba teyavudde mu kibinja.
Empaka z’amasaza omwaka guno 2025 zijja kutandika mu mwezi ogwomusanvu.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe