Olukiiko oluddukanya empaka z’Amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere lukakasiza nti omupiira ogwakamalirizo ogw’empaka z’omwaka guno, gugenda kuberawo nga 02 omwezi ogujja ogwa November 2024.
Mukusooka ensengeka ezasooka zibadde ziraga nti omupiira guno gujja kubeerawo nga 26 omwezi guno ogwa October, wabula ensengeka empya zikakasiza nti omupiira gujja kubeerawo nga 02 omwezi ogujja, ekisaawe tekinakakasibwa.
Mu ngeri yeemu olukiiko lukakasiza nti ttiimu y’essaza Kyaggwe ne Kyadondo zezigenda okusooka okukyaza amasaza amalala ku mutendera gwa semifinal.
Kyaggwe y’egenda okusooka okukyaza Buweekula mu kisaawe e Mukono ate nga Kyadondo y’egenda okusooka okukyaza Buddu mu kisaawe e Wankulukuku.
Oluzannya olusooka olwa semifinal lugenda kubeerawo ku Sunday ejja 06 October, ate okuddingana kubeerewo nga 13 era omwezi guno gwe gumu.
Ku ttiimu ezatuuse ku mutendera gwa semifinal, Buweekula ne Kyaggwe be batawangulangako ku mpaka zino.
Bulemeezi be bannantamegwa b’empaka ezasembayo, kyokka ku mulundi guno tebaava mu kibinja.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe