Omukulembeze we kibiina kya FUFA Moses Magogo awanguddwa mu kuvuganya okukiikirira CECAFA ku lukiiko lwa CAF olwokuntikko.
Mgaogo awanguddwa Dr. Mutasim Gafa akulira ekibiina ky’omupiira mu Sudan ku bululu 34- 20.
Okulonda kubadde mu Ivory coast ewayindidde ttabamiruka w’e kibiina kya CAF.
Oluvanyuma lw’okuwangulwa, Magogo aweerezza obubaka obuyozaayoza Dr. Mutasim, era n’asuubiza nti wakugenda mu maaso ng’aweereza omupiira, era neyebaza bonna abamuwadde obululu bwafunye, naabo abamuwagidde.
Bisakiddwa: Faridah Bongoley