Eddwaliro lye Lubaga litongozza ekizimbe eky’omulembe kyabmyaliriro 6, ekibuddwamu eyaliko Ssabasumba w’essaza ekkuli erya Kampala Archbishop Cyprian Kizito Lwanga, ng’emu ku ntegeka y’okujaguza emyaka 125 bukyanga litandikibwawo.
Ekizimbe kino kituumiddwa Archbishop Cyprian Kizito Lwango Specialist Center, nga kigenda kubaamu obuweereza bw’ebyobulamu obw’ekikugu ennyo omuli n’okusimbuliza ebitundu byomubiri.
Ekizimbe kino kiguddwawo ssabaminisita wa Uganda, Robinah Nabbanja, akiikiridde president Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni.
Wasooseewo mmisa eyeemyaka 125 ekulembeddwamu omubaka wa paapa mu Uganda, Papal Nuncio Archbishop Luigi Bianco nga ayambibwako ssabasumba we Ssaza ekkulu erya Kampala, His Grace Paul Ssemogerere n’omubaka wa paapa eyawummula Apostolic Nuncio Archbishop Augustine Kasujja, ku mukolo oguyindidde ku kitebe ky’eddwaliro ekikulu e Lubaga.
Omukolo guno gwetabiddwako Katikkiro wa Buganda eyawummula, Owek JB Walusimbi, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, akiikiriddwa Minister w’olukiiko, Cabinet nensonga za wofiisi ya Katikkiro, Owek Noah Kiyimba, ssonga neeyaliko omumyuka wa president Edward Kiwanuka Ssekandi naye omukolo agwetabyeko, meeya we Lubaga Mberaze Zaake Mawula Taata Namuli, abawereza mu ekereziya, bannabyabulamu nabantu abalala bangi.
Bisakiddwa: Ddungu davis