Abatuuze ku kyalo Lunnya Kiggo Division ye Nakawa mu Kampala baguddemu ekyekango, Landlord bwavudde mu mbeera naakuba omupangisa ennyondo n’agwa eri n’asambagala ng’amulanga kulemererwa kusasula nsimbi ez’obupangisa.
Omukyala akubiddwa ennyondo ye Abweera Anita abadde asula kunju z’omusajja ategerekeseeko ekya Sakibu.
Abatuuze mu kitundu ekyo aboogeddeko ne cbs bewunyiza ekibagudde Sakibu okukuba omukyala ennyondo, nti so ng’abadde amubanja shs emitwalo 80,000/= zokka.
Omu kuba akakiiko k’ekyala kino ategerekeseeko erya Nalubwama avumiridde ebikolwa eby’okutwalira amateeka mu ngalo, nasaba abatuuze okuloopa ensonga mu b’obuyinza mu kifo ky’okutwalira amateeka mu ngalo.
Police eyitiddwa n’ekwata Landlord n’atwalibwa e Mutungo Bbiina okunyonyola ekimuviiriddeko okukola ekikolwa eky’ettima.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius