Omusomesa omu afudde ate abasomesa abalala n’abayizi abasoba mu 15 balumiziddwa, Laddu ebakubye ku ssomero lya Sserinnya Primary School.
Sserinnya Primary lisangibwa mu muluka gwe Bulando mu division ya Nyendo Kukungwe mu Kibuga Masaka.
Abakubiddwa laddu baddusiddwa mu ddwaliro e Kitovu, era gyebabategeerezza nti omusomesa Mutaawe Moses ye abadde afudde, ate abalala bakyali mu mbeera mbi.
Director w’essomero lino era nga ye sipiika w’olukiiko lwa division ya Nyendo Mukungwe Iga Joseph agambye laddu egudde mu ku ssaawa nga bbiri ezokumakya mu kire ky’enkuba ekedde okufudemba.
Bisakiddwa: Tomusange Kayinja