Omukelembeze w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu mwennyamivu olw’ekibba ttaka ekiyitiridde mu.bitundu bya Buganda nasaba abantu akisitukiramu balwanyise obubbi buno mubitundu byabwe ng’ekiwundu tekinasamba ddagala.
Kyagulanyi abadde Luweero mukawefube w’okunonyeza ekibiina kye obuwagizi era eno enkumi n’enkumi z’abawagizi bekibiina kino bamwanirizza mu mizira.
Abalyannaka bwebasisinkanye Kyagulanyi basiimye emirimu gye nebamuwa ebirabo ebyanjawulo omubadde effumu, olubugo nebirara nga akabonero akalaga obuvumu, n’okumusibirira entanda okubeera omuvumu mulutabaalo olwokununula eggwanga.
Kyagulanyi agguddewo wofiisi z’ekibiina kya ekokodde enkwe ezeyolese mukiibina Kya NUP nategeeza abawagizi be nti bakozese obuyinza bwebalina basobole okugoba bakirimululu ababerimbiseemu.
Mathias Mpuuga amyuka omukulembeze wa NUP era akulira oludda oluvuganya government mu parliament akubirizza abakulembeze babwe abali e Luweero okukomya omuz ogw’okwelumaluma wabula bakolere wamu nabantu abaabalonda basobole okutwala Luweero wamu n’egwanga mu maaso.
Ababaka abakiikirira district ye Luweero ne Nakaseke mu sseteserezo wa Uganda nabo balaze obutali bumativu bwàbwe olw’engeri ebintu gyebitambulamu mutundutundu lya Luwero.
Bisakiddwa: Conslata Taaka