Ttiimu y’essaza Buddu eraze amaanyi mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere bw’erumbye Kyadondo omwayo n’egikubirayo goolo 3-1.
Omupiira guno guzannyiddwa mu kisaawe e Wankulukuku, era Kyadondo yeyasoose okuteeba ng’eyita mu Ssenyunja Isaac.
Kyokka Buddu evuddeko mabega okuwangula omupiira guno, nga goolo zaayo zitebeddwa Michael Kayongo ateebyeko goolo 2 ne Mike Walaga goolo 1.
Omupiira guno era gwetabidwako minister w’ebyemizannyo abavubuka n’ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga.
Omupiira guno gwasoose kukeerewa okutandika olwa nnamutikkwa w’enkuba, kyokka kino tekirobedde bawagizi kujja mu bungi okuwagira ttiimu zabwe.
Omupiira omulala oguzannyidwa, Kyaggwe ekubye Buweekula goolo 2-1 mu kisaawe kya Bishops e Mukono ekibadde kikubyeko obugule.
Buweekula yesoose okuteeba nga eyita mu Herbert Assimwe, kyokka Kyaggwe nayo evuddeko mabega okuwangula omupiira guno nga eyita mu Nyalimu Steven ateebye goolo zonna.
Tiimu zonna kati ziriinze kuddingana mu Sunday ejja nga 13 October,2024 okufunako ttiimu ezigenda ku luzannya olw’akamalirizo olunabaawo nga 02 November,2024.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe